Job 10

1 a“Obulamu bwange mbukyayidde ddala,
noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange,
njogerere mu kulumwa kw’emmeeme yange.
2 bNnaagamba Katonda nti, Tonsalira musango ne gunsinga,
ntegeeza ky’onvunaana.
3 cKikusanyusa okunnyigiriza,
okunyooma omulimu gw’emikono gyo,
n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?
4 dAmaaso go ga mubiri?
Olaba ng’omuntu bw’alaba?
5 eEnnaku zo zisinga ez’omuntu,
n’emyaka gyo gisinga egy’omuntu,
6 folyoke onoonye ebisobyo byange
era obuulirize ekibi kye nkoze,
7newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango
era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo?

8 g“Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola.
Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo?
9 hJjukira nti wammumba ng’ebbumba,
ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?
10Tewanzitulula ng’amata
n’onkwasa ng’omuzigo?”
11 iTewannyambaza omubiri n’olususu,
n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta?
12 jKale wampa okuganja mu maaso go,
era walabirira, n’omwoyo gwange.
13 kNaye bino wabikweka mu mutima gwo,
era mmanyi nga byali mu birowoozo byo.
14 lSinga nyonoona, ondaba
era tewandindese n’otombonereza.
15 mBwe mba nga nsingibbwa omusango,
zinsanze nze!
Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange,
kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.
16 nBwe mba ng’asituka, n’onjigga ng’empologoma,
era n’onnumba n’amaanyi go amangi ennyo.
17 oOleeta abajulizi abajja okunnumiriza,
era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi;
amayengo ne gajja okunnumba olutata.

18 p“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?
Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
19Singa satondebwa,
oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.
20 qEnnaku zange entono kumpi teziweddeeko?
Ndeka mbeeko n’akaseera ak’okusanyuka,
21 rnga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda,
ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,
22y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba
era n’okutabukatabuka,
ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”
Copyright information for LugEEEE